1 Samwiri 9:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
Read full chapter
1 Bassekabaka 9:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mukama n’amugamba nti,
“Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo.
Read full chapter
2 Bassekabaka 19:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu
20 (A)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli.
Read full chapter
Zabbuli 39:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
owulire okukaaba kwange onnyambe.
Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
nga bajjajjange bonna bwe baali.
Zabbuli 56:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
Wagawandiika.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.