Ebyabaleevi 6:14-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebiweebwayo eby’Emmere ey’Empeke
14 (A)“Era lino ly’etteeka ery’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke. Batabani ba Alooni banaaleetanga ekiweebwayo ekyo awali Mukama mu maaso g’ekyoto. 15 (B)Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulungi obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’amafuta gaako ag’omuzeeyituuni n’obubaane bwonna, ebiri ku kiweebwayo ekyo, n’akyokya ku kyoto nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 16 (C)Batabani ba Alooni banaalyanga ekisigaddewo, naye nga tebaliiramu kizimbulukusa mu kifo ekyo ekitukuvu; banaakiriiranga mu luggya lw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 17 (D)Tekiiyokerwengamu kizimbulukusa. Nkibawadde nga kye kinaabanga omugabo gwabwe ogw’oku biweebwayo byange ebyokebwa, kye kintu ekitukuvu ennyo okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango. 18 (E)Buli mwana mulenzi ava mu Alooni anaayinzanga okukiryako, ng’etteeka ery’emirembe gyonna bwe ligamba erifa ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Buli anaabikwatangako anaafuukanga mutukuvu.”
Read full chapter
Okubala 15:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)kale nno oyo anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi, nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza nga obutundu mwenda obwa Ini[a] ey’amafuta ag’omuzeeyituuni.
Read full chapterFootnotes
- 15:4 Ini ze lita nnya
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.