Ekyamateeka Olwokubiri 10:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.
Read full chapter
Zabbuli 50:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zabbuli ya Asafu.
50 (A)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
1 Bassekabaka 8:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)Osonyiwenga era okolenga buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka ggwe omanyi, emitima gy’abantu bonna,
Read full chapter
Yobu 10:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango
era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?
Zabbuli 44:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
Yeremiya 17:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)“Nze Mukama nkebera omutima,
ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
ng’ebikolwa bye bwe biri.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.