Ekyamateeka Olwokubiri 32:28-29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 Lye ggwanga omutali magezi,
mu bo temuliimu kutegeera.
29 (A)Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,
ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
Isaaya 47:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Wayogera nti,
‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
Ezeekyeri 24:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.
Read full chapter
Yeremiya 13:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 Gamba kabaka era ne namasole nti,
“Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
Omubuulizi 4:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amaziga g’Abanyigirizibwa
4 (A)Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.
Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
kyokka nga tewali asobola kubagambako.
Yeremiya 16:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.
Read full chapter
Zabbuli 25:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
onzigyeko ebibi byange byonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.