Engero 2:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
Engero 5:3-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
4 (B)naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
5 (C)Ebigere bye bituuka mu kufa,
ebisinde bye biraga emagombe.
Engero 7:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Binaakuwonyanga omukazi omwenzi,
omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.
Engero 23:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,
n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
Omubuulizi 7:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.