Eseza 1:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, n’alagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi,
Read full chapter
Eseza 5:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bw’onooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ng’oli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.
Read full chapter
Zabbuli 7:14-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
n’azaala obulimba.
15 (B)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
n’obukambwe bwe bumuddire.
Zabbuli 9:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.