Ezeekyeri 1:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa.
Read full chapter
Ezeekyeri 1:26-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 (B)Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.