Isaaya 10:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
Yeremiya 30:15-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,
obulumi bwo obutaliiko ddagala?
Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo
nkuleeseeko ebintu bino.
16 (A)“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,
abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.
Abo abaakunyaga balinyagibwa,
abo abaakwelula balyelulwa.
17 (B)Naye ndikuzzaawo owone,
ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,
‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,
Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
Matayo 23:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)“Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena?
Read full chapter
1 Basessaloniika 5:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
Read full chapter
Abaebbulaniya 2:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.