Isaaya 3:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Abasajja bo balittibwa kitala,
abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
Isaaya 65:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)ndibawaayo eri ekitala
era mwenna mukutaamirire musalibwe,
kubanga nabayita naye temwayitaba,
nayogera naye temwampuliriza.
Mwakola ebitasaana
era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
Isaaya 34:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Tunula mu muzingo gwa Mukama osome.
Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo,
era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume.
Akamwa ka Mukama ke kalagidde,
era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
Isaaya 40:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,
ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
Isaaya 58:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)awo olifuna essanyu eriva eri Mukama
era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu
era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo”
Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Mikka 4:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.