Isaaya 35:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)birimeruka,
birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.
Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa,
ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni;
baliraba ekitiibwa kya Mukama,
ekitiibwa kya Katonda waffe.
Yoswa 7:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Ne balyoka babatuumako amayinja, n’okutuusa kaakano entuumu y’amayinja eyo gagadde ekyaliwo. Mukama n’alekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli n’okutuusa kaakano.
Read full chapter
Isaaya 51:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okukubirizibwa Okwesiga Katonda
51 (A)“Mumpulirize,
mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama:
Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,
n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.