Makko 10:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”
Read full chapter
Lukka 17:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.
Read full chapter
Yokaana 2:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”
Read full chapter
Matayo 17:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu
Read full chapter
Matayo 17:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.
Read full chapter
Matayo 27:63
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
63 (A)ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’
Read full chapter
Makko 9:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.”
Read full chapter
Lukka 9:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”
Read full chapter
Lukka 18:31-33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe
31 (A)Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 (B)Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 (C)balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
Read full chapter
Lukka 24:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti,
Read full chapter
Lukka 24:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.