Matayo 24:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa
“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”
Isaaya 13:9-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 Laba olunaku lwa Mukama lujja,
olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
10 (A)Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo
tebiryaka;
enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,
n’omwezi nagwo tegulyaka.
Malaki 4:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olunaku lwa Mukama
4 (A)“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi.
Read full chapter
Malaki 4:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.