Okubala 32:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 3:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”
Read full chapter
Okubala 32:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe.
Read full chapter
Yoswa 1:13-15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)“Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’ 14 Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira, 15 (B)okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.