Olubereberye 1:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”
Read full chapter
1 Abakkolinso 15:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye.
Read full chapter
1 Abakkolinso 15:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna.
Read full chapter
Abaefeso 1:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa,
Read full chapter
Abaebbulaniya 2:6-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,
“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
7 Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,
wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
8 (B)n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”
Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.