Olubereberye 18:23-32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi? 24 (B)Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu? 25 (C)Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”
26 (D)Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.”
27 (E)Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu! 28 Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?”
N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.”
29 Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.”
Mukama n’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.”
30 Ate n’agamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.”
N’addamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.”
31 N’agamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.”
N’agamba nti, “Ku lw’amakumi abiri sijja kukizikiriza.”
32 (F)Ate n’agamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.”
N’addamu nti, “Ku lw’abo ekkumi sijja kukizikiriza.”
Read full chapter
Zabbuli 34:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
Zabbuli 34:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
Zabbuli 66:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
Zabbuli 145:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
Zabbuli 145:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
Engero 15:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Mukama ali wala n’aboonoonyi,
naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.
Isaaya 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.
Isaaya 59:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa
59 (A)Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,
era si muzibe wa matu nti tawulira.
Isaaya 59:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Naye obutali butuukirivu bwammwe
bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
n’atawulira.
Yokaana 15:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.
Read full chapter
Yakobo 5:16-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.
17 (B)Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu! 18 (C)Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera.
Read full chapter
1 Yokaana 5:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira.
Read full chapter
1 Yokaana 5:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.