Olubereberye 7:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”
Read full chapter
Olubereberye 7:21-23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna. 22 (B)Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa. 23 (C)Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.
Read full chapter
2 Peetero 2:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)N’ensi ey’edda teyagisaasira, n’aleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, n’alokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu n’abalala musanvu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.