Yeremiya 36:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Twala omuzingo gw’empapula oguwandiikeko ebigambo byonna bye njogedde naawe ebikwata ku Isirayiri, ne Yuda n’amawanga gonna okuva mu biseera bye natandika okwogera naawe okuva mu bufuzi bwa Yosiya okutuusa kaakano.
Read full chapter
Zabbuli 40:6-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
Naye onzigudde amatu.
7 Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
8 (B)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.