Zabbuli 4:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
4 (A)Bwe nkukoowoola onnyanukule,
Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.
Zabbuli 25:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
onzigyeko ebibi byange byonna.
Ekyamateeka Olwokubiri 23:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kyokka Mukama Katonda wo n’alemesa Balamu; ekikolimo n’akikufuuliramu omukisa, kubanga Mukama Katonda wo akwagala nnyo.
Read full chapter
Abaruumi 8:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi.
Read full chapter
Zabbuli 109:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
Leka abannumbagana baswale,
naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.