Zabbuli 48:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
48 (A)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
Zabbuli 76:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
Zabbuli 89:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
Ekyamateeka Olwokubiri 32:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
nfumita era ne mponya;
era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.