Zabbuli 50:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
Zabbuli 97:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Omuliro gumukulembera
ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
Isaaya 30:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Laba, erinnya lya Mukama liva wala
n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
Ekyamateeka Olwokubiri 33:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Yagamba nti,
“Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi
n’atutuukako ng’ava ku Seyiri;
yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.
Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu
okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
Zabbuli 68:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
Okubikkulirwa 5:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi n’enkumi, n’enkuyanja nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka awamu n’ebiramu biri n’abakadde bali.
Read full chapter
Okubikkulirwa 20:11-15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abafu Balamulwa
11 (A)Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. 12 (B)Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali. 13 (C)Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali. 14 (D)Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. 15 (E)Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.