Zabbuli 6:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
Kaabakuuku 1:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri
12 (A)Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,
ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.
Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.
Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
Okuva 15:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
gwalina amaanyi n’ekitiibwa;
omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
gwasesebbula omulabe.
Zabbuli 73:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.