Zabbuli 7:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
n’azaala obulimba.
Isaaya 59:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Tewali awaaba bya nsonga
so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
Yakobo 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.
Read full chapter
Isaaya 26:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Twali lubuto, twalumwa,
naye twazaala mpewo
Tetwaleeta bulokozi ku nsi,
tetwazaala bantu ba nsi.
Isaaya 1:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,
n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,
era byombi biriggiira wamu
so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.