Zabbuli 7:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
ate n’akigwamu ye kye yasimye.
Eseza 6:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)n’ategeeza Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna byonna ebimutuuseeko.
Awo abamuwa amagezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti, “Engeri Moluddekaayi gw’otanulidde okugwa mu maaso ge, nga bw’ava mu ggwanga ly’Abayudaaya, tojja kumusinga, era tolirema kuzikirira mu maaso ge.”
Read full chapter
Eseza 2:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.
Read full chapter
Eseza 7:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”
Read full chapter
Zabbuli 35:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)bazikirizibwe nga tebategedde,
n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
Zabbuli 141:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.
Engero 28:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,
aligwa mu katego ke ye,
naye abatuukirivu balisikira ebirungi.
Engero 29:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega,
naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.
Isaaya 50:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,
ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,
mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,
ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.
Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;
muligalamira mu nnaku.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.