Olubereberye 22:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)n’amugamba nti, “Nze Mukama neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati,
Read full chapter
Abaebbulaniya 6:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obukakafu bw’ebisuubizo bya Katonda
13 (A)Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka.
Read full chapter
Isaaya 55:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;
tekiriddayo bwereere,
naye kirikola ekyo kye njagala
era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
Zabbuli 63:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
Isaaya 19:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira.
Read full chapter
Abaruumi 14:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Kubanga kyawandiikibwa nti,
“ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama,
‘buli vviivi lirinfukaamirira
era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”
Abafiripi 2:10-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (B)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.