Zabbuli 39:5-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
6 (B)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
Zabbuli 62:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Abaana b’abantu mukka bukka,
abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
n’omukka gubasinga okuzitowa.
Zabbuli 144:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Omuntu ali nga mukka.
Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.
Omubuulizi 12:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,
“Buli kintu butaliimu.”
Abaruumi 8:20-21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira. 21 (B)Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu n’abaana ba Katonda ekitiibwa eky’okuba mu ddembe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.