1 Timoseewo 6:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina.
Read full chapter
Zabbuli 37:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Kubanga ababi balisalibwako,
naye abeesiga Mukama baligabana ensi.
Zabbuli 37:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Naye abateefu baligabana ensi
ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.
Makko 10:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri,
Read full chapter
Makko 10:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.