1 Abakkolinso 10:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.
Read full chapter
Abaruumi 15:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Temwesanyusa Mwekka
15 (A)Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka.
Read full chapter
Abaruumi 15:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza.
Read full chapter
1 Abakkolinso 13:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo.
Read full chapter
Abafiripi 2:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.
Read full chapter
Abafiripi 2:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.