1 Bassekabaka 12:28-30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.” 29 (B)Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani. 30 (C)Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.
Read full chapter
Koseya 4:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
Koseya 9:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ne bwe baliwona okuzikirira,
Misiri alibakuŋŋaanya,
ne Menfisi alibaziika.
Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika,
n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.
Koseya 10:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Omutima gwabwe mulimba,
era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
era alizikiriza empagi zaabwe.
Isaaya 32:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)n’olw’ensi ey’abantu bange,
ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
Lukka 23:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)“ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,”
n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’
Okubikkulirwa 6:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.