2 Abakkolinso 7:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzamu nnyo; muŋŋumizza nnyo omwoyo ne mundeetera essanyu lingi wakati mu kubonaabona kwange.
Read full chapter
2 Abakkolinso 7:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Obanga nnenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe, temwanswaza, naye byonna nga bwe twabibategeeza bwe biri eby’amazima, era n’okwenyumiriza kwaffe ku Tito nakwo ne kuba kwa mazima.
Read full chapter
2 Abakkolinso 8:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 18:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.