2 Abakkolinso 1:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi.
Read full chapter
Zabbuli 118:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
Abantu bayinza kunkolako ki?
Isaaya 2:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Mulekeraawo okwesiga omuntu
alina omukka obukka mu nnyindo ze.
Kiki ennyo kyali?
Isaaya 40:6-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
“Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”
Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,
“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 (B)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.
Mazima abantu muddo.
1 Peetero 1:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 Kubanga,
“Abantu bonna bali ng’omuddo,
n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo.
Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.