2 Bassekabaka 17:3-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu. 4 Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera. 5 (B)Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu. 6 (C)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[a] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.
Read full chapterFootnotes
- 17:6 Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29)
Yeremiya 3:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.
Read full chapter
Yeremiya 31:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Muteeke ebipande ku nguudo;
muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
komawo mu bibuga byo.
Yeremiya 31:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Olituusa ddi okudda eno n’eri,
ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
omukazi aliwa omusajja obukuumi.”
Ezeekyeri 33:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’
Read full chapter
Zabbuli 86:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.