2 Bassekabaka 22:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”
Read full chapter
2 Bassekabaka 9:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Era omulambo gwa Yezeberi guliba ng’obusa ku ttale mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”
Read full chapter
Yeremiya 4:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,
mukube ebiwoobe
kubanga obusungu bwa Mukama obw’amaanyi tebutuvuddeeko.
Danyeri 9:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ayi Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’ekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw’ebibi byaffe n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse eky’okusekererwa eri abatwetoolodde bonna.
Read full chapter
Isaaya 9:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,
balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.
Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo
era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Isaaya 9:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.
Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
era omukono gwe gukyagoloddwa.
Isaaya 9:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
ate bombi ne balya Yuda.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Isaaya 10:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
oba okuba mu abo abattiddwa.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.