2 Ebyomumirembe 28:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Peka mutabani wa Lemaliya yatta abaserikale ba Yuda emitwalo kkumi n’ebiri mu lunaku lumu, kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Read full chapter
Isaaya 7:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Akabonero Akategeeza Okujja kwa Emmanweri
7 (A)Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.[a]
Read full chapterFootnotes
- 7:1 Mu mwaka 735 bc, Isirayiri ne Busuuli batta omukago balwanyise Bwasuli, ne bagezaako okusendasenda Akazi kabaka wa Yuda abeegatteko
2 Bassekabaka 12:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.