2 Samwiri 8:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
Read full chapter
1 Bassekabaka 11:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwa Sulemaani, ng’okwo kw’otadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni n’addukira mu Alamu, era n’abeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.
Read full chapter
2 Bassekabaka 5:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Naamani Awonyezebwa Ebigenge
5 (A)Awo waaliwo omusajja erinnya lye nga ye Naamani eyali omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Busuuli[a], nga musajja wa maanyi mu maaso ga mukama we, era ng’ayagalibwa nnyo, kubanga Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi ku lulwe. Yali muserikale muzira ddala; naye nga mugenge.
Read full chapterFootnotes
- 5:1 Kabaka oyo ye yali Benikadadi II.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.