Amosi 1:9-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mukama bw’ati bw’ayogera nti,
“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe
n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 (B)kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
ogunaayokya ebigo byakyo.”
Zekkaliya 9:2-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo,
ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
3 (B)Ttuulo kyezimbira ekigo
ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,
ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
4 (C)Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,
alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,
era kiryokebwa omuliro.
Yeremiya 25:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;
Olubereberye 10:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.
Yoweeri 3:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 2:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.