Balam 11:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 Yefusa n’atuma ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni, ng’amugamba nti, “Onnanga ki ggwe, okujja gye ndi, olwanyise eggwanga lyange?”
Read full chapter
2 Samwiri 16:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ”
Read full chapter
1 Bassekabaka 17:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kiki ky’onnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange?”
Read full chapter
Makko 1:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.”
Read full chapter
Lukka 4:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)“Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu ow’e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.”
Read full chapter
Yokaana 2:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
Read full chapter
2 Peetero 2:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olw’okusalirwako omusango.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.