Ebikolwa by’Abatume 1:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri,
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 8:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 13:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
Read full chapter
2 Timoseewo 1:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange.
Read full chapter
Okubala 8:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 9:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.”
Read full chapter
1 Timoseewo 4:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.