Ebyabaleevi 19:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)“Enviiri ez’oku mabbali g’omutwe gwo tozisalangako; n’ekirevu kyo tokikomolanga.
Read full chapter
Isaaya 15:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
okukaabira mu ssabo lyabwe.
Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
Yeremiya 48:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Buli mutwe mumwe
na buli kirevu kisaliddwako;
buli mukono gutemeddwako
na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
Isaaya 20:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.