Ekyamateeka Olwokubiri 10:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebikulu Katonda bye Yeetaaga
12 (A)Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna,
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 18:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Read full chapter
1 Samwiri 12:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera.
Read full chapter
2 Abakkolinso 1:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Pawulo akyusa mu ntegeka ze
12 (A)Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli.
Read full chapter
Yoswa 24:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)N’abagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri.”
Read full chapter
Ezeekyeri 23:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika n’okumanya abasajja.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.