Ezeekyeri 45:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Omulangira anavunaanyizibwanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo eby’okunywa ku mbaga ez’emyezi egyakaboneka n’eza Ssabbiiti, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri; y’anaagabulanga ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isirayiri.
Read full chapter
Ebyabaleevi 7:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)“ ‘Naye omuntu bw’anaawangayo ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo, oba olw’okweyagalira, kinaaliibwanga ku lunaku olwo lwennyini lw’akiwaddeyo; ekinaasigalangawo ku kiweebwayo ekyo kinaaliibwanga enkeera.
Read full chapter
Ezeekyeri 46:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.