Ezeekyeri 32:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)“Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe.
Read full chapter
Ezeekyeri 27:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,
n’abalunnyanja bo,
n’abagoba bo,
n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna
na buli muntu ali ku kyombo balibbira
wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.