Ezeekyeri 48:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Ekitundu ekirifikkawo ku njuyi zombi ez’omugabo omutukuvu n’ettaka ly’ekibuga biriba bya mulangira. Okugenda mu Buvanjuba ekimu kiriba mayilo munaana ez’omugabo omutukuvu okutuuka ku nsalo ey’Ebuvanjuba, n’ekirala okudda mu Bugwanjuba kiriba mayilo munaana okutuuka ku nsalo ey’Ebugwanjuba. Ebifo ebyo byombi okuliraana emigabo egy’ebika biriba bya mulangira. Omugabo omutukuvu, awamu n’Awatukuvu wa yeekaalu, biriba wakati wakyo.
Read full chapter
Ezeekyeri 45:3-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 Mu kifo ekitukuvu olipima ekigera obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo ssatu, era omwo mwe muliba awatukuvu, Ekifo Ekitukuvu Ennyo. 4 (A)Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo eky’ennyumba zaabwe n’ekigo ekitukuvu eky’Awatukuvu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.