Isaaya 1:4-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5 (B)Lwaki mweyongera okujeema?
Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
n’omutima gwonna gunafuye.
6 (C)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
wadde okuteekebwako eddagala.
Yeremiya 8:5-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kale lwaki abantu bange bano
banvaako ne bagendera ddala?
6 (B)Nawuliriza n’obwegendereza
naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
7 (C)Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
tebamanyi biragiro bya Mukama.”
8 (D)Muyinza mutya okwogera nti,
“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
yeebikyusizza.
9 (E)Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
magezi ki ge balina?
10 (F)Noolwekyo bakazi baabwe
ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.