Isaaya 9:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.
Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
era omukono gwe gukyagoloddwa.
Isaaya 9:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
tewali muntu alekawo muganda we.
Isaaya 5:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma,
balikaaba ng’empologoma ento:
weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe
bagutwalire ddala awatali adduukirira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.