Matayo 5:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Etteeka ly’Obutemu
21 (A)“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga, na buli anattanga, anaawozesebwa.’
Read full chapter
Matayo 5:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.
Read full chapter
Yokaana 8:44
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
44 (A)Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba.
Read full chapter
Abaggalatiya 5:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu,
Read full chapter
Abaggalatiya 5:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.