Matayo 1:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuzaalibwa kwa Yesu
18 (A)Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.
Read full chapter
Lukka 1:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi.
Read full chapter
Lukka 1:76
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
76 (A)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
Makko 1:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.”
Read full chapter
Matayo 4:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.