Okubala 13:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Musa n’abatuma okuketta n’okwetegereza ensi ya Kanani, n’abagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi ey’ensozi.
Read full chapter
Okubala 13:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.”
Read full chapter
Okubala 14:6-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe[a], 7 (A)ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo. 8 (B)Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa. 9 (C)Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”
Read full chapterFootnotes
- 14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.