Okukungubaga 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mukama azikirizza
abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;
mu busungu bwe amenye
ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;
assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be
n’abamalamu ekitiibwa.
Okukungubaga 2:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Mukama akoze kye yateekateeka,
era atuukirizza ekigambo kye
kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
aleetedde omulabe wo okukusekerera,
n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
Okukungubaga 2:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu
mu nfuufu ey’enguudo;
abavubuka bange ne bawala bange
battiddwa n’ekitala;
obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,
era obasse awatali kusaasira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.