Okuva 10:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ng’atufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bw’eweddewo?”
Read full chapter
Balam 14:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?”
Read full chapter
Engero 2:16-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 (B)eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 (C)Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 (D)Tewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
Engero 5:3-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
4 (B)naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
5 (C)Ebigere bye bituuka mu kufa,
ebisinde bye biraga emagombe.
Engero 7:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.
Engero 22:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Malaaya mutego gwa kabi,
akolimiddwa Mukama mw’afiira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.