Okuva 14:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuyita mu Nnyanja Emyufu
21 (A)Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu.
Read full chapter
Isaaya 25:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
tekirizimbibwa nate.
Zekkaliya 9:3-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Ttuulo kyezimbira ekigo
ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,
ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
4 (B)Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,
alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,
era kiryokebwa omuliro.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.